Deuteronomy 32:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nagamba nti: “Nzija kubasaasaanya, eky'okubajjukira nkiggyire ddala mu bantu,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nalowoozaako ku ky’okubasaasaanya wabulewo akyabajjukiranga ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, Nandibasaasaanyirizza wala, Nnandimazeewo okujjukirwa kwabwe mu bantu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nagamba nti: Ka mbasaasaanye ewala, wabulirewo ddala abajjukira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nayogera nti Nandibasaasaanyizza wala, Nandimazeeyo okujjukirwa kwabwe mu bantu: