Deuteronomy 32:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye natya abalabe okwewaana, sikulwa ng'abalabe baabwe tebakitegeera ne bagamba nti: “Ffe tuwangudde, Omukama si ye yakola bino byonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne saagala abalabe baabwe kubasosonkereza, kubanga abaabalumbagana bandiremeddwa okukitegeera, ne beewaana nti, “Ffe tuwangudde, Mukama ebyo byonna si ye yabikoze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa saatya kuvvoola kw'abalabe, Abaabakyawa baleme okwewaana, Baleme okwogera nti Omukono gwabwe guwangudde, Era Mukama si y'akoze bino byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne neekengera okwewaana kw'abalabe: ababakyawa baleme kwerimba nga bagamba nti: Olw'amaanyi gaffe ffe tubawangudde, sso Mukama si ye akoze bino byonna.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Singa saatya kusunguwaza kwa mulabe, Abaabakyawa baleme okwerimba, Baleme okwogera nti Omukono gwaffe gugulumizibwa, Era Mukama si y'akoze bino byonna: