Deuteronomy 32:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu awondera atya olukumi, oba ababiri ne baddusa omutwalo, okuggyako ng'olwazi lwabwe lubatunze, ng'Omukama abavuddemu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi, oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka, wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo, Mukama Katonda ng’abawaddeyo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu yandigobye atya olukumi, N'ababiri bandiddusizza batya omutwalo, Lwazi waabwe singa teyabatunda, Era Mukama singa teyabaabulira?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu yandigobye atya olukumi, n'ababiri ne baddusa omutwalo, singa ow'amaanyi abakuuma teyabawaayo, singa Mukama teyabaabulira?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omu yandigobye atya olukumi; N'ababiri bandiddusizza batya akakumi, Lwazi waabwe singa teyabatunda, Era Mukama singa teyabagabula?