Deuteronomy 32:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuwoolera eggwanga kyange, nzija kusasula ng'obudde butuuse; mangu ekigere kyabwe kijja kuseerera. Olunaku lw'okuzikirira kwabwe lusembedde, enkomerero yaabwe ebajjira mangu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula. Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera, obudde bwabwe obw’okuzikirira busembedde, n’okubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuwalana kwange, n'okusasula, Obudde bwe bulituuka ekigere kyabwe ne kiseerera; Kubanga olunaku lwabwe olw'okulaba ennaku luli kumpi, N'ebigenda okubajjira biryanguwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye awoolera eggwanga, era ye asasula. Obudde bujja kutuuka bagwe, kubanga ekiseera kyabwe eky'okubonaabona kiri kumpi, n'eby'okubajjira byanguwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuwalana kwange, n'okusasula, Obudde bwe bulituuka ekigere kyabwe ne kiseerera: Kubanga olunaku lwabwe olw'okulaba ennaku luli kumpi: N'ebigenda okubajjira biryanguwa: