Deuteronomy 32:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama aliramula abantu be asaasire abaweereza be, bw'aliraba ng'amaanyi gabawedde nga tewali asigadde muddu oba mwana wa ddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya, alisaasira abaweereza be, bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu, omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama alisalira abantu be omusango, Era alyejjusa olw'abaddu be; Bw'aliraba ng'obuyinza bwabwe buweddewo, So tewali asigaddewo, oba musibe oba atali musibe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alisalawo nti abantu be, be basinze omusango. Abaweereza be alibakwatirwa ekisa, bw'aliraba nga bonna baweddemu amaanyi, ng'omusibe n'ow'eddembe tewakyali agalina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama alisalira abantu be omusango; Era alyejjusa olw'abaddu be; Bw'aliraba ng'obuyinza bwabwe buweddewo, So tewali asigaddewo, oba musibe oba atali musibe.