Deuteronomy 32:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
balubaale abaalyanga amasavu g'ebitambiro byabwe, ne banywa evviini y'ebitone byabwe eby'okuyiwa? Basituke, bakuyambe! Bakuwe we weewogoma!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe, ne banywa envinnyo ey’ekiweebwayo ekyokunywa? Basituke bajje babayambe, kale babawe obubudamo babakuume!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaalyanga amasavu ag'essaddaaka zaabwe, Abaanywanga omwenge ogw'ekyo kye baawangayo eky'okunywa Bagolokoke bababeere, Babe ekigo kyammwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baalyanga amasavu ag'ebitambiro byammwe, ne banywa omwenge ogw'emizabbibu gwe mwabatoneranga banywe. Bajje kaakano babayambe, babe obuwonero bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaalyanga amasavu ag'essaddaaka zaabwe, Abaanywanga omwenge ogw'ekyo kye baawangayo ekyokunywa. Bagolokoke bababeere, Babe ekigo kyammwe,