Deuteronomy 32:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabe nno nze Nzuuyo, teri Katonda mulala, wabula nze; nzita ne nzizaamu obulamu; nkuba, ate ne mponya; tewali ayinza kuwonya ali mu mikono gyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye! Tewali katonda mulala wabula Nze; nzita era ne nzuukiza, nfumita era ne mponya; era tewali atangira mukono gwange nga gukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulabe kaakano nga nze, nze wuuyo, So tewali katonda mulala Nze nzita, era nze mpa obulamu; Nfumise, era mponya; So tewali ayinza okubalokola okubaggya mu mukono gwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Kaakano mumanye nga Nze era nzekka Nze wuuyo. Tewali Katonda mulala wabula Nze. Nze nzita, era Nze mpa obulamu. Nfumita era ne mponya. Tewali ayinza kunzigyako kiri mu buyinza bwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulabe kaakano nga nze, nze wuuyo, So tewali katonda wamu nange: Nze nzita; era nze mpa obulamu; Nfumise, era mponya: So tewali ayinza okulokola okuggya mu mukono gwange: