Deuteronomy 32:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Amawanga, mujaguze n'abantu be, kubanga aliwoolera eggwanga olw'omusaayi gw'abaweereza be aliwoolera eggwanga ku balabe be, aliddaabiriza ensi y'abantu be.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mujaguze mmwe amawanga awamu n’abantu be, kubanga aliwalanira omusaayi gw’abaweereza be, aliwalana abalabe be, era alitangirira olw’ensi ye n’abantu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musanyuke, mmwe amawanga, wamu n'abantu be; Kubanga aliwalana eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be, Era alibonereza abalabe be, Era aliwonya ensi ye, n'abantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe amawanga mutendereze abantu ba Mukama, kubanga aliwoolera eggwanga ku abo abatta abaweereza be, n'akwatirwa ekisa ensi ye n'abantu be.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musanyuke, mmwe amawanga, wamu n’abantu be. Kubanga aliwalana eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be, Era alisasula abalabe be okubonerezebwa; Era alitangirira elisi ye, abantu be.