Deuteronomy 32:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yajja ne Yoswa mutabani wa Nuunu n'atontoma ebigambo byonna eby'oluyimba luno ng'abantu bawulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’ajja awamu ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n’addamu ebigambo byonna eby’oluyimba olwo ng’abantu bonna bawulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ajja ne Koseya, omwana wa Nuuni. Ne boogera ebigambo by'oluyimba luno byonna ng'abantu bawulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Musa bwe yajja ne Hoseya mutabani wa Nuuni, ne boogera ebigambo by'oluyimba olwo byonna, ng'abantu bawulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ajja n'ayogerera ebigambo byonna eby'oluyimba luno mu matu g'abantu, ye ne Koseya omwana wa Nuni: