Deuteronomy 32:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Musse omutima ku bigambo byonna, bye nnangiridde ddala gye muli olwa leero, mulyoke mubiragire abaana bammwe bakwatenga era batuusenga ebigambo byonna eby'etteeka lino,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abagamba nti, “Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero n’obuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abagamba nti, “Musseeyo omwoyo ku bigambo byonna bye mbategeeza leero; bye muliyigiriza abaana bammwe, balyoke bakwatenga ebigambo byonna eby'amateeka ago n'okubituukirizanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agamba nti: “Musseeyo omwoyo ku bigambo byonna bye mbategeezezza olwaleero. Mubiyigirize abaana bammwe, bafengayo okutuukiriza byonna ebiragirwa mu mateeka gano,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba nti Muteeke omutima gwammwe ku bigambo byonna bye mbategeeza leero; bye muliragira abaana bammwe, okukwata ebigambo byonna eby'amateeka ago okubikolanga.