Deuteronomy 32:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga kino si kigambo bugambo omutali nsa, wabula bwe bulamu bwammwe. Olw'ekigambo kino mulisobola okuwangaalira mu nsi gye mugenda okuyingiramu mugitwale nga mumaze okusomoka Yorudani.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo ebyo si bya kusaagasaaga, wabula bye bigambo ebikwatira ddala ku bulamu bwammwe bwennyini. Okusinziira ku bigambo bino, mugenda kuwangaala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugifuna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebigambo bino si bya kusaaga, naye bya bulamu bwammwe, bye biribawaangaliza mu nsi gye mugenda okutuulamu nga musomose omugga Yoludaani.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga bino si bigambo bya kusaaga, naye bya bulamu bwammwe bwennyini, era bye biribawangaaliza mu nsi gye mugenda okwefuga nga musomose Omugga Yorudaani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga si kigambo ekitaliimu gye muli kubanga bwe bulamu bwammwe, era olw'ekigambo ekyo kyemunaavanga muwangaala ennaku zammwe ku nsi gye musomokera Yoludaani okugirya.