Deuteronomy 32:50 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lusozi olwo lw'onoolinnya, gy'olifiira n'ogattibwa ku bantu bo, nga Aroni muganda wo bwe yafiira mu lusozi Ori n'agattibwa ku bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lusozi olwo lw’ojja okulinnya kw’olifiira okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo, nga muganda wo Alooni bwe yafiira ku lusozi Koola, n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ofiire ku lusozi lw'olinnyako, ogoberere bajjajjaabo, nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku lusozi Koola, n'agoberera bajjajjaabe abantu be:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ofiire ku lusozi olwo, weegatte ku bajjajjaabo, nga muganda wo Arooni bwe yafiira ku Lusozi Hori, ne yeegatta ku bajjajjaabe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ofiire ku lusozi lw'olinnyako, okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo; nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku lusozi Koola, n'akuŋŋaanyizibwa eri abantu be: