Deuteronomy 32:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga temwali beesigwa gye ndi mu maaso g'Abayisirayeli ku mazzi g'e Meriba Kadesi, mu ddungu ly'e Zini, kubanga temwayoleka butuukirivu bwange mu Bayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mwembi mwanziggyamu obwesige mu maaso g’abaana ba Isirayiri ku mazzi g’e Meriba-Kadesi mu ddungu ly’e Zini, olw’okulemwa okussa ekitiibwa ekituukiridde mu butukuvu bwange mu maaso g’abaana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga mwansobya ne munnyiiriza wakati mu baana ba Isiraeri, ku mazzi ag'e Meriba mu Kadesi, mu ddungu Zini; kubanga temwantukuza wakati mu baana ba Isiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mmwe mwembi mwasobya ne munnyiiriza mu Bayisirayeli. Bwe mwali ku mazzi g'e Meriba ku Kadesi, mu ddungu ly'e Ziini, temwanzisaamu kitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga mwansobyako wakati mu baana ba Isiraeri ku mazzi ag'e Meriba mu Kadesi, mu ddungu Zini; kubanga temwantukuza wakati mu baana ba Isiraeri.