Deuteronomy 32:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe mutyo bwe musiima Omukama, Ggwe eggwanga essiru, omutali ggezi? Si ye kitaawo eyakutonda, Eyakukola, eyakussaawo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mutyo bwe musasula Mukama Katonda, mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi? Si ye kitaawo eyakutonda, n’akussaawo n’akunyweza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mutyo bwe musasula Mukama, Mmwe abantu abasirusiru abatalina magezi? Ye Kitammwe eyabagula, n'abateekawo; n'abafuula eggwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mutyo bwe muyisa Mukama, mmwe abantu abatalina magezi? Si ye kitammwe eyabateekawo? Si ye yabafuula eggwanga?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe musasula Mukama bwe mutyo, Mmwe abantu abasirusiru abatalina magezi? Si ye kitaawo eyakugula? Ye yakukola, ye yakunyweza ye.