Deuteronomy 32:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ali Waggulu Ddala bwe yagabira amawanga obusika, bwe yatemaatema mu baana ba Adamu, yassizaawo amawanga ensalo ng'Abayisirayeli bwe benkana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaago abantu bonna bwe yabayawulayawulamu, yategeka ensalo z’amawanga ng’omuwendo gw’abaana ba Isirayiri bwe gwali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ali waggulu ennyo bwe yawa amawanga obusika bwabwe, Bwe yayawula abaana b'abantu, Yassaawo ensalo z'amawanga Ng'omuwendo bwe gwali ogw'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Atenkanika bwe yagabira amawanga ebyago, bwe yayawulamu abantu. Yabateerawo ensalo zaabwe ng'agoberera omuwendo gw'abaana ba Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ali waggulu ennyo bwe yawa amawanga obusika bwabwe, Bwe yayawula abaana b'abantu: Yassaawo ensalo z'amawanga Ng'omuwendo bwe gwali ogw'abaana ba Isiraeri.