Deuteronomy 33:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukama, wa omukisa obugagga bwe, siima omulimu gw'emikono gye. Kutula emigongo gy'abamusitukiddemu, n'abamukyawa baleme kusituka nate.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama Katonda owe omukisa byonna by’akola, era okkirize emirimu gy’emikono gye. Okubirenga ddala abo abamugolokokerako okubenga abalabe be balemenga kwongera kumulumbanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu byabwe, Mukama, biwenga omukisa, Okkirize omulimu gw'emikono gyabwe; Obetenterenga ddala abalabe baabwe, abo ababakyawa balemenga okuddamu okubalumba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyabwe, ayi Mukama, obiwenga omukisa. Osanyukirenga bye bakola. Betenteranga ddala abalabe baabwe, abo ababakyawa balemenga kuddamu kusituka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebintu bye, Mukama, biwenga omukisa, Okkirize omulimu gw'emikono gye: Ofumitire ddala ebiwato byabwe abanaamugolokokerangako, N'abo abamukyawa balemenga okugolokoka nate.