Deuteronomy 33:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Benyamiini yagamba nti: “Omwagalwa w'Omukama asula mu ye mu ddembe, kubanga amutaasa olunaku lwonna; naye atudde wakati w'ebibegabega bye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bye yayogera ku Benyamini: “Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu, Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo, omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku kika kya Benyamini n'ayogera nti, “Omwagalwa wa Mukama anaatuulanga mirembe awali ye; Amubikkako okuzibya obudde, Era anaabeeranga wakati mu bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku Babenyamiini n'agamba nti: “Bano mikwano gya Mukama. Banaabeeranga mirembe w'ali. Anaabakuumanga ekiseera kyonna, era anaabeeranga mu bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku Benyamini n'ayogera nti Omwagalwa wa Mukama anaatuulanga mirembe awali ye; Amubikkako okuzibya obudde, Era atuula wakati w'ebibegabega bye