Deuteronomy 33:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Yozefu, yagamba nti: “Ensi ye Omukama agiwe omukisa; n'omusulo gw'eggulu ogusinga obulungi, n'eddubi eryebase eyo wansi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayogera bw’ati ku Yusufu: “Ettaka lye Mukama Katonda aliwe omukisa, n’omusulo omulungi ennyo ogunaavanga waggulu mu ggulu n’amazzi mu nzizi empanvu mu ttaka wansi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku kika kya Yusufu n'ayogera nti, “Ensi ye eweebwe Mukama omukisa; Olw'omusulo omungi oguva mu ggulu, N'amazzi agava wansi mu ttaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku ba Yosefu n'agamba nti: “Ensi yaabwe, Mukama agiwe omukisa, ogw'ebirungi ebiva waggulu mu bire, n'ogw'ebiva mu ttaka wansi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku Yusufu n'ayogera nti Ensi ye eweebwe Mukama omukisa; Olw'eby'omuwendo omungi eby'omu ggulu, olw'omusulo, N'olw'ennyanja egalamira wansi,