Deuteronomy 33:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ebibala by'enjuba ebikira obulungi, n'eby'omwezi bye gubaza ebisukkirivu obulungi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebibala ebigimu ennyo ebinaavanga mu musana, n’amakungula aganaasinganga mu myezi gyonna;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ensi ye ebeeremu ebibala bingi ebyengezebwa enjuba, n'ebikungulwa bingi buli mwezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi yaabwe ebeemu ebibala ebyengezebwa enjuba, era ebirungi mu buli makungula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'olw'eby'omuwendo omungi eby'ebibala by'enjuba. N'olw'eby'omuwendo omungi ebiva mu kukula kw'emyezi,