Deuteronomy 33:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kitiibwa ali ng'ennume eggula enda, amayembe ge, mayembe ga mbogo, g'alikozesa n'atomera amawanga n'ago agaliba ku nkingi z'ensi. Egyo gye mitwalo gya Efurayimu, Ezo ze nkumi n'enkumi za Manasse.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberye amayembe ge, ng’amayembe ga sseddume endalu; anaagatomezanga amawanga n’agayuzaayuza, n’agagoberanga ku nkomerero y’ensi. Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimu nga ze nkumi za Manase.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaanyi ga Yusufu galinga ag'ente ennume embereberye; Era galinga ag'amayembe g'embogo; Aligatomeza amawanga n'agasindiikiriza ku nkomerero y'ensi; Efulayimu alivaamu emitwalo n'emitwalo; ne Manase enkumi n'enkumi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu alina amaanyi ng'ag'ente ennume, n'amayembe ng'ag'embogo. Amayembe ago, gye mitwalo gya Bamanasse, gye mitwalo n'emitwalo gy'Abeefurayimu. Aligatomeza amawanga agasindiikirize, agatuuse ensi gy'ekoma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ye nte ye embereberye, obukulu bwe bubwe; N'amayembe ge, mayembe ga mbogo: Aligasindisa amawanga gonna, enkomerero z'ensi: Era bwe bukumi bwa Efulayimu, Era ze nkumi za Manase.