Deuteronomy 33:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
yagamba nti: “Omukama yajja ng'ava ku Sinayi, n'abaakira ng'ava ku Seyiri; yayakaayakana ng'ava ku lusozi Parani, n'asembera ng'ava e Meribuboti Kadesi, n'ajja gye bali okuva emaserengeta ng'akkirira enkonko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yagamba nti, “ Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi n’atutuukako ng’ava ku Seyiri; yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani. Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Mukama yava ku Sinaayi, Era yabagolokokera ng'ava ku Seyiri; Yamasamasa okuva ku lusozi Palani, Ng'ali wamu n'emitwalo gy'abatukuvu; N'omuliro ogwaka ku mukono gwo ogwa ddyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yagamba nti: “Mukama yava ku Lusozi Sinaayi, n'avaayo ng'enjuba ku Seyiri, n'ayaka ng'asinziira ku Lusozi Parani, ng'ali wamu n'obukumi bw'abatuukirivu, n'omuliro ogwaka nga gumuli ku ludda lwe olwa ddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mukama yava ku Sinaayi, Era yabagolokokera ng'ava ku Seyiri; Yamasamasa okuva ku lusozi Palani, N'ava eri obukumi bw'abatukuvu: Ku mukono gwe ogwa ddyo kwaliko amateeka ag'omuliro gye bali: