Deuteronomy 33:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Gaadi yagamba nti: “Aweebwe omukisa oyo agaziya Gaadi. Abwamiridde oyo ng'empologoma, ataagulako omukono n'omutwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayogera bw’ati ku Gaadi: “Alina omukisa oyo agaziya ensalo z’omugabo gwa Gaadi, Gaadi omwo mw’abeera ng’empologoma ng’ayuza omukono n’omutwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku kika kya Gaadi n'ayogera nti, “Mukama alibakwatirwa ekisa; n'agaziya ensi yammwe, Mulyoke mumwebazenga. Alibwama ng'empologoma enkazi, n'ataagula omukono n'omutwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku Kika kya Gaadi n'agamba nti: “Aweebwe omukisa agaziya ensi ya Gaadi. Gaadi abwama ng'empologoma, okutaagula omukono n'akawompo k'omu mutwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku Gaadi n'ayogera nti Aweebwe omukisa oyo agaziya Gaadi; Atuula ng'empologoma enkazi, N'ataagula omukono; era obwezinge bw'omutwe.