Deuteronomy 33:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeerondera ekitundu ekisinga obulungi, ekitundu ky'omufuzi kye kyamuterekerwa; yajja ku bukulembeze bw'abantu. Yakola obutuukirivu bw'Omukama; yatuusa ebibuuliriro bye eri Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeerondera omugabo gw’ettaka erisinga obulungi, omugabo gw’omukulembeze gwe gwamukuumirwa. Abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana ye yabasalira emisango gya Mukama, n’okukwasa Isirayiri amateeka ga Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulembeze bwe bakuŋŋaana, yaweebwa ekitundu ekisinga obulungi eky'omugabo ogw'omukulembeze; N'atuukiriza ebiragiro bya Mukama n'amateeka ge yawa Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yatwala ekitundu ekirungi okusinga ebirala, kubanga eyo ye waateekebwa omugabo gw'omukulembeze. Yajja n'abakulembeze b'abantu, n'atuukiriza ebiragiro bya Mukama, n'amateeka ge yawa Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne yeeterekera omugabo ogw'olubereberye, Kubanga, eyo ekitundu eky'omugabi w'amateeka, kyaterekwa; N'ajja awamu n'emitwe gy'abantu, Yakola eby'obutuukirivu, ebya Mukama, N'emisango gye eri Isiraeri.