Deuteronomy 33:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Nafutali yagamba nti: “Nafutali akkuse obuganzi ew'Omukama, ajjudde emikisa gye; alisikira obugwanjuba n'amaserengeta.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayogera bw’ati ku Nafutaali: “Ggwe Nafutaali ajjudde obuganzi bwa Mukama Katonda era ng’ojjudde emikisa gye, onoosikira obukiikaddyo okutuuka ku nnyanja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku kika kya Nafutaali n'ayogera nti, “Ggwe Nafutaali, Mukama akukwatiddwa ekisa, era akuwadde omukisa; Twala ensi ey'ebugwanjuba n'obukiika obwaddyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku Kika kya Nafutaali n'agamba nti: “Ggwe Nafutaali, Mukama ow'ekisa akuwadde nnyo omukisa. Funa ensi ey'ebugwanjuba n'ey'omu bukiikaddyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku Nafutaali n'ayogera nti Ggwe Nafutaali, akkuse obuganzi, Anyiye omukisa gwa Mukama: Ggwe lya obugwanjuba n'obukiika obwa ddyo.