Deuteronomy 33:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Aseeri yagamba nti: “Aseeri eyasingira ddala okuweebwa omukisa mu baana, asanyukirwe mu baganda be, ebigere bye abinaaze mu muzigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayogera bw’ati ku Aseri: “Asinga okuweebwa omukisa mu batabani ye Aseri, ku baganda be gwe babanga basinga okwagala era emizabbibu gigimuke nnyo mu ttaka lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku kika kya Aseri n'ayogera nti, “Aseri aweebwe omukisa ogusinga ku gwa banne; Ayagalibwenga baganda be; Ensi ye eyazenga amafuta ag'emizeyituuni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku Kika kya Aseri n'agamba nti: “Aseri afune omukisa ogusinga ku gwa banne. Ayagalibwenga baganda be. Ensi ye eyazenga omuzigo ogw'emizayiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku Aseri n'ayogera nti Aseri aweebwe omukisa gw'abaana; Asiimibwenga baganda be. Era annyikenga ekigere kye mu mafuta