Deuteronomy 33:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eminyolo gyo giriba gya kyuma na kikomo, amaanyi go galyenkana n'obungi bw'ennaku zo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enzigi z’ebibuga byo zinaasibwanga n’eminyolo egy’ekyuma n’ekikomo n’amaanyi go ganenkananga n’obuwangaazi bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga bye biggalwenga enzigi ez'ekyuma n'ez'ekikomo. Abenga wa maanyi obulamu bwe bwonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga bye biggalwenga enzigi ez'ekyuma n'ez'ekikomo. Abenga wa maanyi obulamu bwe bwonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebisiba byo binaabanga kyuma na lukomo; Era ng'ennaku zo, amaanyi go bwe ganaabanga bwe gatyo.