Deuteronomy 33:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Teri ali nga Katonda w'Omwagalwa ayeebagala eggulu ajje akuyambe, mu bukulu bwe ajjira ku bire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni eyeebagala waggulu ku ggulu ng’ajja okukuyamba ne ku bire mu kitiibwa kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ggwe Yesuluni, tewali afaanana Katonda, Eyeebagala ku ggulu n'ayita mu bbanga, Ng'ali mu kitiibwa ekingi, n'ajja okukuyamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe Abayisirayeli, teri n'omu ali nga Katonda eyeebagala ku ggulu n'ayita mu bbanga. Ng'ali mu kitiibwa ekingi, n'ajja okubayamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali afaanana Katonda, ggwe Yesuluni, Eyeebagala ku ggulu olw'okukubeera, Era ku bbanga mu bukulu bwe obusinga: