Deuteronomy 33:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda ow'edda n'edda bwe buddukiro bwo, akuwaniridde n'emikono gye egitaggwaawo. Aligobawo omulabe mu maaso go, Oyo agamba nti: ‘Zikiriza’.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo, era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna. Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba, n’agamba nti, ‘Bazikirize!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda ataggwaawo kye kifo kyo ky'otuulamu, Era emikono gye egitaggwaawo gikuwanirira: yagoba abalabe okuva mu maaso go,” Naayogera nti, “Mubazikirize.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda ataggwaawo ye abataasa mmwe. Emikono gye egy'olubeerera gye gibawanirira. Anaagobanga abalabe bammwe mu nsi nga mutuuka, mmwe n'abagamba nti: “Mubazikirize.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda ataggwaawo kye kifo ky'otuulamu, Era emikono egitaggwaawo gikuwanirira: Naasimbulamu abalabe mu maaso go, Naayogera nti Zikiriza.