Deuteronomy 33:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weesiimye, Yisirayeli! Ani akufaanana, ggwe eggwanga eryanunulibwa Omukama? Yennyini ye ngabo yo era omuyambi wo, oyo ekitala ky'obukulu bwo. Abalabe bo balyebwalabwala mu maaso go, ate ggwe olisambirira ebifo byabwe ebigulumivu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga weesiimye, Ayi Isirayiri! Ani akufaanana, ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola? Ye ngabo yo era omubeezi wo, era kye kitala kyo ekisinga byonna. Abalabe bo banaakuvuunamiranga, era onoobalinnyiriranga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olina omukisa, ggwe Isiraeri; Teri akufaanana ggwe, eggwanga eryalokolwa Mukama, Mukama ye ngabo yo era kye kitala kyo ekikutaasa, Era abalabe bo balikujeemulukukira; Naawe olibawangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oli wa mukisa ggwe Yisirayeli! Ani ali nga ggwe, eggwanga erirokolebwa Mukama? Mukama ye ngabo yo n'ekitala kyo, ebikutaasa, era ebikuwa obuwanguzi. Abalabe bo balijja ne bakwemenyera, ggwe n'obalinnyako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olina omukisa ggwe Isiraeri: Ani akufaanana ggwe, eggwanga eryalokolwa Mukama, Engabo ey'okubeerwa kwo, Era kye kitala eky'obukulu bwo obusinga! Era abalabe bo balikujeemulukukira; Naawe olirinnya ku bifo byabwe ebya waggulu.