Deuteronomy 33:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima oyagala abantu; bonna abatukuvu bo bakuli bati mu ngalo zo, bonna bavunnama ku bigere byo, ne bafuna enjigiriza okuva mu kigambo kyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mazima gw’oyagala abantu, abatukuvu bonna bali mu mikono gyo. Bavuunama wansi ku bigere byo ne bawulira ebiragiro by’obawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, ayagala abantu be; Abatukuvu be bonna bali mu mikono gye. Ne batuula ku bigere bye Okuwulira ebigambo bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weewaawo ayagala abantu be. Abaamwawulirwa bali mu mikono gye. Batuula kumpi n'ebigere bye okuwulira ebigambo bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, ayagala amawanga; Abatukuvu be bonna bali mu mukono gwo. Ne batuula ku bigere byo; Buli muntu aliweebwa ku bigambo byo.