Deuteronomy 33:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Mwagalwa mulimu kabaka, ng'abakungu mu ggwanga bakuŋŋaanye wamu n'ebika bya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waasitukawo kabaka mu Yesuluuni abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana nga bye bika bya Isirayiri ebyegasse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yali kabaka mu Yesuluni. Abakulembeze b'abantu, n'ebika byonna ebya Isiraeri bwe bakkuŋŋaana;”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yafuuka Kabaka w'Abayisirayeli, ebika byabwe n'abakulembeze baabwe bwe baakuŋŋaana.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yali kabaka mu Yesuluni. Emitwe gy'abantu bwe baakuŋŋaanyizibwa, Ebika byonna ebya Isiraeri wamu: