Deuteronomy 33:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Yuda yagamba kino nti: “Mukama, wulira eddoboozi lya Yuda, muleete eri abantu bo. Yeerwanako n'omukono gwe; mubeerere obuyambi ku balabe be.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kye yayogera ku Yuda: “Wulira, Ayi Mukama Katonda okukaaba kwa Yuda; omuleete eri abantu be. Yeerwaneko n’emikono gye. Omuyambenga ng’alwanyisa abalabe be!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku kika kya Yuda n'ayogera nti, “Wulira, Mukama, eddoboozi lya Yuda, Omukomyewo mu baganda be; Nyweza emikono gye nga yeerwanirira, era omuwonye eri abalabe be. N'emikono gye yeerwanirira;”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayogera ku ba Yuda nti: “Wulira ayi Mukama omulanga gwa Yuda, omukomyewo mu baganda be. Omulwanirire, omuyambe okumuwonya abalabe be.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era guno gwe mukisa gwa Yuda: n'ayogera nti Wulira Mukama, eddoboozi lya Yuda, Omuyingize eri abantu be: N'emikono gye yeerwanirira; Era onoobanga mubeezi eri abalabe be.