Deuteronomy 33:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Leevi yagamba nti: “Tummimu yo ne Wurimu bya musajja gwe weetukuliza, gwe wagereza e Massa, gwe wayomba naye ku mazzi e Meriba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye yayogera ku Leevi: “Sumimu wo ne Ulimu wo biwe omusajja oyo gw’oyagala ennyo. Wamukebera e Masa n’omugezesa ku mazzi ag’e Meriba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku Kika kya Leevi n'ayogera nti, “Sumimu wo ne Ulimu wo biwe abasajja bo abatya Katonda, Be wakemera e Masa, Be wawakana nabo ku mazzi ag'e Meriba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku Baleevi n'agamba nti: “Turimu wo ne Wurimu wo biwe basajja bo abakussaamu ekitiibwa, be wagereza e Massa. Wawakana nabo ku mazzi g'e Meriba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku Leevi n'ayogera nti Sumimu wo ne Ulimu wo biri n'omusajja wo atya Katonda, Gwe wakemera e Masa, Gwe wawakana naye ku mazzi ag'e Meriba;