Deuteronomy 33:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyagamba kitaawe ne nnyina nti: ‘Sibatya,’ baganda be ataabategeera, n'abaana be ataabafaako. Kubanga yakuuma ekigambo kyo, yalabirira endagaano yo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayogera ku kitaawe ne nnyina nti, ‘Abo sibafaako.’ Baganda be teyabategeeranga wadde okusembeza abaana be; baalabiriranga ekigambo kyo ne bakuumanga endagaano yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaanywerera ku ggwe Okusinga ku bazadde baabwe, Ne ku baganda baabwe, ne ku baana baabwe. Baawulira ebiragiro byo, ne bakuuma endagaano yo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi baanywerera ku ggwe okusinga ku bazadde baabwe, ne ku baganda baabwe, ne ku baana baabwe. Baawulira ebiragiro byo, ne bakuuma endagaano yo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyayogera ku kitaawe ne ku nnyina nti Simulabye; So teyakkiriza baganda be, So teyamanya baana be ye: Kubanga bakutte ekigambo kyo, Era beekuuma endagaano yo.