Deuteronomy 34:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Musa n'ava mu miseetwe gy'e Mowabu n'ayambuka ku lusozi Nebo, ku ntikko Pisuga, emitala wa Yeriko; Omukama n'amulaga ensi yonna okuva e Gileyaadi okutuuka ku Daani,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’ayambuka okuva mu nsenyi za Mowaabu, n’alinnyalinnya Olusozi Nebo, n’atuukira ddala ku ntikko eyitibwa Pisuga, eyolekedde Yeriko. Mukama Katonda n’asinziira awo n’amulengeza ensi yonna ensuubize: okuva ku Giriyaadi okutuuka ku Ddaani,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa n'ava mu nsenyi z'e Mowaabu n'alinnya ku lusozi Nebo, ku ntikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko. Mukama n'amulaga ensi yonna ey'e Giriyaadi okutuusa ku Ddaani;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'ava mu nsenyi z'e Mowaabu, n'ayambuka ku Lusozi Nebo, entikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko. Mukama n'amulaga ensi eyo yonna ey'e Gileyaadi, okutuuka e Daani,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa n'ava mu nsenyi za Mowaabu n'alinnya ku lusozi Nebo, ku ntikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko: Mukama n'amulaga ensi yonna eye Giriyaadi okutuusa ku Ddaani;