Deuteronomy 34:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eyakola obubonero obwo obwewuunyisa n'ebikuuno Omukama bye yamulagira okukola mu nsi y'e Misiri, abikole ku Faraawo ne ku bakungu be, ne ku nsi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewaaliwo yamwenkana olw’obubonero n’ebyamagero Mukama Katonda bye yamutuma okukola mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'akola obubonero obwo bwonna n'eby'amagero, Mukama bye yamutuma okukola mu nsi y'e Misiri, eri Falaawo, n'eri abaddu be bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali mulanzi mulala yakola byewuunyo na byamagero ng'ebyo Mukama bye yatuma Musa okukola ku kabaka w'e Misiri, ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu bubonero obwo bwonna n'eby'amagero, Mukama bye yamutuma okukola mu nsi y'e Misiri, eri Falaawo, n'eri abaddu be bonna, n'eri ensi ye yonna;