Deuteronomy 34:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teri yali alaze buyinza n'okukola ebikuuno ebinene okwenkana Musa bye yakola mu maaso ga Yisirayeli yenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi amangi, n’obuyinza obw’entiisa bwe yayoleka mu Isirayiri yenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tewali nnabbi mulala yakola bya maanyi ebyo byonna era eby'entiisa eyo yonna nga Musa bye yakola ng'Abaisiraeri bonna balaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era tewali mulanzi mulala yakola bya maanyi ebyo byonna era eby'entiisa eyo yonna nga Musa bye yakola ng'Abayisirayeli bonna balaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mu mukono ogwo gwonna ogw'amaanyi, ne mu ntiisa eyo yonna ennene, Musa gye yakoleranga mu maaso ga Isiraeri yenna.