Deuteronomy 34:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nafutali yenna n'ensi ya Efurayimu ne Manasse n'ensi yonna eya Yuda okutuuka ku nnyanja ey'ebuvanjuba
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne Nafutaali yonna, n’ensi ya Efulayimu ne Manase, n’ensi yonna eya Yuda okutuuka ku Nnyanja ey’Ebugwanjuba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne Nafutaali yonna, n'ensi ya Efulayimu ne Manase, n'ensi yonna eya Yuda okutuusa ku nnyanja Eyawakati;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ekitundu kyonna ekya Nafutaali, n'ensi ya Efurayimu ne Manasse, n'ensi yonna eya Yuda, okutuuka ebugwanjuba ku Nnyanja Eyaawakati,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Nafutaali yonna, n'ensi, ya Efulayimu ne Manase, n'ensi yonna eya Yuda okutuusa ku nnyanja ey'emabega;