Deuteronomy 34:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Eyo ye nsi gye nalayirira Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo bwe nagamba nti: ‘Nzija kugiwa ezzadde lyo.’ Nkulese n'ogirabako n'amaaso go, naye tojja kusomoka kugiyingira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Eyo y’ensi gye nalayirira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga ngibasuubiza nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo.’ Ngikulaze n’ogiraba n’amaaso go, naye tojja kusomoka kugituukamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amugamba nti Eyo ye nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo; ngikulengeza bulengeza naye tolisomoka kugendayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Eyo ye nsi gye nalayirira Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo nga ŋŋamba nti ndigiwa ezadde lyabwe. Ngikulengezezza bulengeza, naye tojja kusomoka kugendayo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amugamba nti Eyo ye nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo nkugirengezezza n'amaaso go, naye tolisomoka kugendayo.