Deuteronomy 34:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yafa aweza emyaka kikumi mu abiri; amaaso ge nga tegannafuma, n'amaanyi ge nga tegannamuggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa we yafiira yali nga yakamaze emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; kyokka ng’amaaso ge galaba bulungi, era n’amaanyi ge nga tegakendeddeeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa we yafiira yali awezezza emyaka kikumi mu abiri (120); eriiso lye lyali terizibye, so n'amaanyi ge ag'obuzaaliranwa gaali tegakendeddeeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa we yafiira, yali awezezza emyaka kikumi mu abiri. Kyokka yali akyalaba bulungi era ng'akyali wa maanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Musa yali yaakamaze emyaka kikumi mu abiri bwe yafa; eriiso lye lyali terizibye, so n'amaanyi ge ag'obuzaaliranwa gaali tegakendeddeeko.