Deuteronomy 34:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli baakaabira Musa mu miseetwe gy'e Mowabu okumala ennaku asatu, olwo ennaku ez'okukaaba n'okukungubaga ne ziggwaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne bakaabira Musa mu nsenyi za Mowaabu okumala ennaku amakumi asatu, okutuusa ennaku ezo ez’okukaaba n’okukungubagira Musa bwe zaggwaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne bakungubagira Musa mu nsenyi za Mowaabu okumala ennaku asatu (30).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bakaaba amaziga olwa Musa, okumala ennaku amakumi asatu nga bali mu nsenyi z'e Mowaabu, olwo ekiseera eky'okukungubagiramu nga bakungubagira Musa, ne kiryoka kiggwaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Musa amaziga mu nsenyi za Mowaabu ennaku asatu kale ennaku ez'okukaabiramu nga banakuwalira Musa ne ziggwa.