Deuteronomy 34:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa, mutabani wa Nuunu, n'ajjuzibwa omwoyo gw'amagezi, kubanga Musa yamuteekako emikono gye; Abayisirayeli ne bamuwulira, ne bakola nga Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa, mutabani wa Nuuni, yali ajjudde omwoyo ogw’amagezi, kubanga Musa yali yamuteekako emikono gye. Abaana ba Isirayiri ne bamuwulira, ne bakola nga Mukama Katonda bwe yali alagidde Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Yoswa omwana wa Nuuni yali ajjudde omwoyo ogw'amagezi; kubanga Musa yali amutaddeko emikono; abaana ba Isiraeri ne bamuwuliranga, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa mutabani wa Nuuni yali ajjudde amagezi, kubanga Musa yali amukakasizza okumusikira. Abayisirayeli ne bawuliranga Yoswa, ne bakolanga nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Yoswa omwana wa Nuni yali ajjudde omwoyo ogw'amagezi; kubanga Musa yali amutaddeko emikono; abaana ba Isiraeri ne bamuwuliranga, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.