Deuteronomy 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jjukira olunaku lwe wayimirira mu maaso g'Omukama Katonda wo ku Korebu, Omukama lwe yaŋŋamba nti: ‘Kuŋŋaanyiza we ndi abantu, bawulire ebigambo byange, bayige okuntya obudde bwonna bwe banaamala mu nsi, babiyigirize n'abaana baabwe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kirungi mujjukire nga bwe mwayimirira awali Mukama Katonda wammwe, ku lusozi Kolebu, bwe yaŋŋamba nti, ‘Kuŋŋaanya abantu bonna obandeetere wano we ndi, bawulire ebigambo byange, balyoke bayige okumpulira nga bantya; banzisengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala ku nsi, era ebigambo ebyo babiyigirizenga abaana baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
olunaku lwe wayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wo wansi w'olusozi Kolebu; Mukama bwe yaŋŋamba nti, ‘Nkuŋŋaanyiza abantu, mbategeeze ebigambo byange, bayige okuntyanga ennaku zonna ze banaamalanga nga balamu ku nsi, era bayigirizenga n'abaana baabwe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olunaku lwe mwayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ku lusozi Horebu, lwe yaŋŋamba nti: ‘Nkuŋŋaanyiza abantu. Njagala bawulire bye mbagamba, bayige okuntyanga ennaku zonna ez'obulamu bwabwe ku nsi, era ekyo bakiyigirizenga n'abaana baabwe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olunaku lwe wayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wo ku Kolebu, Mukama bwe yaŋŋamba nti Nkuŋŋaanyiza abantu, nange naabawuliza ebigambo byange, bayige okuntyanga ennaku zonna ze banaabanga abalamu ku nsi, era bayigirizenga abaana baabwe.