Deuteronomy 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwasembera ne muyimirira wansi w'olusozi, olwabuubuukanga omuliro okutuuka ku ggulu, nga luliko ekire ekiddugavu n'enzikiza ekutte.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwasembera ne muyimirira wansi w’olusozi, ne mulaba nga lwaka omuliro ogwatuukira ddala waggulu ku ggulu, nga gwetooloddwa ebire n’ekizikiza ekikutte.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ne musembera ne muyimirira wansi w'olusozi; olwali lubikkiddwa ebire ebikwafu, eby'omukka omuddugavu, ne lwaka omuliro, ne gutumbiira mu bbanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mutegeezanga abaana bammwe nga bwe mwasembera ne muyimirira wansi w'olusozi olwali lubikkiddwa ebire ebikwafu, eby'omukka omuddugavu, ne lwaka omuliro, ne gutumbiira mu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne musembera ne muyimirira wansi w'olusozi; olusozi ne lwaka n'omuliro okutuusa ku mutima gw'eggulu, n'ekizikiza, n'ekire, n'ekizikiza ekikutte.