Deuteronomy 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yayogera nammwe ng'ayima mu muliro wakati; ebigambo mwabiwulira kyokka temwalaba nfaanana ye, mwawulira ddoboozi lyokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Mukama Katonda n’ayogera nammwe ng’asinziira wakati mu muliro. Mwawulira envuga y’ebigambo bye, naye ekikula kye temwakiraba; mwakoma ku ddoboozi lyokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayogera nammwe ng'ayima wakati mu muliro; naye mwawulira ddoboozi lya bigambo lyokka, naye temwalaba kifaananyi kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubategeezenga nga Mukama bwe yayogera nammwe ng'asinziira mu muliro, ne muwulira ddoboozi lyokka ng'ayogera, kyokka ne mutalaba nga bw'afaanana n'akatono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nammwe ng'ayima wakati mu muliro: mwawulira eddoboozi ly'ebigambo, naye ne mutalaba kifaananyi kyonna; ddoboozi lyokka.