Deuteronomy 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
muleme kwonooneka nga mwekolera ebifaananyi bya balubaale ebyole mu nfaanana ya buli kifaananyi, abeere musajja oba mukazi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mulemenga okweyonoona nga mwekolera bakatonda abalala, aba buli ngeri, abali mu bifaananyi ebiri ng’omusajja oba ng’omukazi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mwekuume muleme kwonoona nga mwekolera ekifaananyi ekyole eky'engeri yonna, eky'ekintu ekisajja oba ekikazi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mwekuume muleme kwonoona nga mwekolera ekifaananyi ekyole eky'engeri yonna ey'ekintu ekisajja oba ekikazi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mulemenga okweyonoona ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kifaanana ekintu kyonna, ekifaananyi ky'ekisajja oba eky'ekikazi,