Deuteronomy 4:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'ositulanga amaaso eri eggulu n'olaba enjuba n'omwezi n'emmunyeenye, eggye lyonna ery'eggulu, tokemebwanga n'obivunnamira n'obisinza; ebyo byo Omukama Katonda wo yabirekera gali amawanga amalala gonna wansi w'eggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era weekuumenga nnyo bw’onooyimusanga amaaso go okutunula waggulu ku ggulu, n’olaba enjuba, n’omwezi n’emmunyeenye, n’ebitiibwa byabyo, n’osendebwasendebwa n’obiweereza, era n’obivuunamira n’obisinza; songa ebyo byonna bye bintu Mukama Katonda wo bye yawa amawanga gonna agali wansi w’eggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Toyimusanga amaaso mu ggulu n'olaba enjuba, omwezi n'emmunnyeenye eby'omuggulu, n'osendebwasendebwa okubisinza oba okubiweereza, kubanga Mukama Katonda wo ebyo yabiteerawo amawanga gonna agali ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era mulemenga kukemebwa ne musinza era ne muweereza bye mulaba ku ggulu: enjuba, n'omwezi n'emmunyeenye. Ebyo byonna eby'oku ggulu, Mukama Katonda wammwe yabiteerawo abantu bonna abali ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era olemenga okuyimusa amaaso go mu ggulu, n'olaba enjuba n'omwezi n'emmunyeenye, lye ggye lyonna ery'omu ggulu, n'osendebwasendebwa n'obisinza, n'obiweereza, Mukama Katonda wo bye yagabira amawanga gonna agali wansi w'eggulu lyonna: