Deuteronomy 4:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mmwe Omukama yabaggya mu kabiga k'essasa ly'e Misiri, obeere eggwanga lye, obusika bwe, nga bwe mumanyi bwe kiri kaakati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mmwe, Mukama yabaggya mu Misiri, mu mbiga esaanuusa ebyuma, mubeerenga bantu be ab’obusika bwe, nga bwe muli leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama yabatwala, n'abaggya mu bulumi n'okubonyaabonyezebwa okungi mu Misiri, mulyoke mubeere abantu be abe nvuma nga bwe muli leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe Mukama yabakwatako, n'abaggya mu kabiga ak'ekyuma, ye Misiri, abafuulire ddala abantu be nga bwe muli kaakano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama yabatwala n'abaggya mu kikoomi eky'ekyuma, mu Misiri, okuba gy'ali abantu ab'envuma, nga leero.