Deuteronomy 4:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama yansunguwalira olw'okubeera mmwe, n'alayira nti sijja kusomoka Yorudani na kuyingira mu nsi ennungi, Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa ebeere obusika bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ate n’ekirala, Mukama yansunguwalira ku lwammwe, ne yeerayirira nti nze sigenda kusomoka mugga ogwo Yoludaani nnyingire mu nsi eyo ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawa okubeera obusika bwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze Mukama yansuguwalira ku lwammwe, n'alayira era n'anziyiza okusomoka Yoludaani, newakubadde okuyingira mu nsi eyo ennungi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obutaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Mukama yansunguwalira ku lwammwe, n'alayira nti nze sirisomoka Mugga Yorudaani era siriyingira mu nsi eyo ennungi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa mmwe okuba obutaka bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Mukama yansunguwalira nze ku lwammwe, n'alayira nze obutasomoka Yoludaani, newakubadde okuyingira mu nsi eyo ennungi, Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obutaka: