Deuteronomy 4:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka mwekkaanye, temwerabiranga endagaano y'Omukama Katonda wammwe gye yakuba nammwe, temwekoleranga bifaananyi bya balubaale byole mu nfaanana y'ebyo byonna Omukama Katonda wo bye yakugaana;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwegenderezanga nnyo ne muteerabira ndagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yakola nammwe. Temwekoleranga bitali Katonda mu kufaanaanyiriza okw’ekintu kyonna Mukama Katonda wo kye yakugaana okukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwekuume mulemenga okwerabira endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yalagaana nammwe; temwekoleranga ekifaananyi ekyole eky'ekintu kyonna era eky'engeri yonna, Mukama Katonda wo kye yakugaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwekuume, mulemenga okwerabira endagaano Mukama Katonda wammwe gye yakola nammwe, ne mwekolera ekifaananyi eky'engeri yonna, Mukama Katonda wammwe kye yabagaana,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwekuume mulemenga okwerabira endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yalagaana nammwe, ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kirina engeri y'ekintu kyonna, Mukama Katonda wo kye yakugaana.